Lwaki Nabbubi erina obugulu munaana obutono

Lwaki Nabbubi erina
obugulu munaana
obutono
Ghanaian folktale
Luganda
1
Awo olwatuuka,
newabaawo Nabbubi,
eyalina mukyalawe
eyali amanyi kufumba
emmere obulungi
ennyo.
Naye Nabbubi, yayagala
nga nnyo okuloza ku
mmere eyabeeranga
efumbidwa amaka
amalala ku kyalo ekyo.
2
Olumu n’agenda ko mu
nnyumba y’AKamyu.
Akaamyu ne Nabbubi baali
ba mikwano nnyo.
Ooo! Entamu yo elimu enva
endirwa, ate nga nzagaala
nnyo” ko Akamyu
nekaddamu nti; era zinateera
okujja, sigala tulye ffembi.
Nandiyagadde naye nina
eby’okola ebirala, Nabbubi
nga bwe yeyanguyiriza
kubanga yamanya nti bwe
nelinda emmere okuujja,
Akamanyu kandigiwa
emirimu egy’okukola; yo
ky’etaayagala
3
Nabbubi nagamba nti;
ka nzigirile oluwuzi
lwange ku ntaamu yo,
ne kukuggulu kwange,
awo enva bwe zinaaba
ziyidde bulungi nga
osika oluwuzi; era
bwentyo nange njakujja
nziruka.
Awo Akamyu ne
kakiriza ekiteeso,
kubanga kakiraba nga
ekyo ky’amagezi nnyo
era bwe kyaali.
4
Eee! Mpulira akawoowo k’ebijjanjalo,
Nabbubi nga bwewunyiriza era nga
bw’enoonya akawoowo entamu gye
kavaa mu. Jjangu tuliire wamu
ebijjanjalo byaffe, binatera okujja.
“Enkima nga bwe yita Nabbubi.
“Nandyagadde nnyo Mwami Nkima “
Nabbubi nga bwe ddamu; era netteesa
okuzingirila oluwuzi lw’ayo kuntamu
y’ebijjanjalo ne kukuggulu kw’ayo;
kimuyambe okumanya, oba ebijjanjalo
biyidde.
Era Enkima nekiriza kubanga yalaba
nga amagezi gaali malungi. Era bwe
kyaali.
5
Nabbubi newunyiriza akawoowo ka
lumonde n’omubisi, neyebuuza yoka
wa gye kali kava. Awo Enjiri neyita
mukwano gw’ayo Nabbubi, ne
mugamba nti “entaamu yange ejjudde
lumonde n’omubisi, jjangu tugabane
ffembi”.
Nandyagadde nnyo munange Njiri, nga
Nabbubi bwe ddamu, era netteesa
okuzingirila oluwuzi lw’ayo kuntamu
y’alumonde n’omubisi ne kukuggulu
kw’ayo; kimuyambe okumanya, oba
emmere eyidde.
Era Enjiri nelaba nga ekyo ky’amagezi
nnyo. Era bwe kyaali..
6
Awo ekiseera bwe ky’atuuka,
nga Nabbubi atuuse ku
mugga ya kizuula nti ku
maggulu ge omunaana, buli
kumu kwali kusibidwaako
oluwuzi.
Yalaba nga ago amagezi
gaali malungi nnyo, era nga
bwe y’ebuuza nti; “oba
ntaamu ki en’esooka
okujja?”.
Amangu ago n’awuulira
okusikibwa kwo oluwuzi
olumu ooo! Awo nasanyuka
nnyo era namanya nti kwaali
kuva ku ntamu y’akamyu
okwaali enva endiirwa.
7
Eee! Nawulira okusikibwa
okulala era n’okulala, awo
Nabbubi nakizula nti yali
yakasibikwa amaggulu assatu
omulundi gumu.
Amangu ago Nabbubi
nesikibwa okuggulu okw’okuna,
era n’ogw’okutaano
n’ogw’omukaaga,
n’okw’omusanvu era
n’okw’omunaana.
Nabbubi yasikikbwa enjuyi
zonna nga buli omu bwasiika
oluwuzi lwalina amaggulu
negasikibwa nga bwe gatoniwa
era negeyongerera ddala
okutoniwa nga bwe basika.
8
Amangu ago Nabbubi ne
yekulula negwa mu mugga,
nga ewuzi zonna zikutuse.
Nabbubi neyesiika mpola
mpola nnyo mu bulumi
obungi okutuuka ku
lubalama lw’omugga.
Ooo, ooo, Nabbubi
n’ekizuula nti amagezi geyali
akozeseza tegaali malungi
n’akamu.
N’okutuuka ne kakano
obugulu bwa Nabbubi butini
nnyo era nga buwanvu nnyo.
Era kw’olwo Nabbubi
teyalya ku mmere yonna
olunaku lwonna.
9
Lwaki Nabbubi erina obugulu munaana
obutono
Story Text By: Ghanaian folktale
Illustration: Wiehan de Jager
Translated By:
Versioned By: Kuteesa Rebecca
Language: Luganda
© African Storybook Initiative, 2014
This work is licensed under a Creative Commons Attribution
(CC-BY) Version 3.0 Unported Licence
Disclaimer: You are free to download, copy, translate or adapt this
story and use the illustrations as long as you attribute or credit the
original author/s and illustrator/s.
10